Bya Ben Jumbe.
Ekitongole eky’omusalaba omumyufu ekya Uganda Redcross kitegeezeza nga buli kadde bwekyongera okufuna abalamazi abeetaga obujanjabi obwamangu kubigwa by’abajulizi byonna.
Bino bigidde mukadde nga abalamazi abatuuka e Namugongo nadala abatambuzza ebigere buli kadde beeyongera obungi , nga beetegekera olwa 3rd ku Sunday eno.
Twogedeko n’ayogerera ekitongole Irene Nakasiita n’agamba nti mu kaseera kano bakakola ku bantu abasoba mu 400.
Ono agamba nti abasinga kubano beebo abakooye, abalala balumwa amagulu, okulumwa embuto kko n’ebirara