
Abakulira eby’obulamu mu disitulikiti ye Kibuku District balajanye olw’eddala elijanjaba ekirwadde kya Cholera okubaggwako.
Ekirwadde kino kyalumba abeeno wiiki 2 eziyise nekitta abantu 2 sso nga 74 bakyali ku ndiri.
Omu ku basawo mu ddwaliro lino Rashid Lubega ku ddwaliro lye Kadama agamba eddagala lyonna balikozesezza liweddewo nga kati bemagazza.
Ebyalo ebisinze okukosebwa kuliko Nabunyere ne gombolola ye Nanderemu.
Cholera kirwadde ekiviirako omuntu okufuna ekiddukano, okusesema wamu n’obugonvu mu mubiri.