
Poliisi ekutte omubulizi w’enjiri David Ngabo mu kikwekweto ky’ekoze ku kitebe ky’ekibiina kya FDC wali e Najjanakumbi.
Pastor Ngabo y’akulemberamu essaala zabuli lwakubiri ezatumibwa Black Tuesday nga zetabwamu bannakibiina kya FDC n’abawagizi baabwe.
Poliisi bano ebakedde nga misa okubalemesa okugenda mu maaso n’essaala zino zimukutula njegere oluvanyuma lwa kkooti okutegeeza nti zimenya mateeka.
Omwogezi wa w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemuju Nganda agamba okukwata Pastor Ngabo kutyobola dembe lyakusinza.
Nganda era agamba poliisi yebulungudde ofiisi z’ekibiina zonna okwetolola eggwanga nga era bannakibiina abamu bakwatiddwa nga bajja mu kusaba.
E Kasangati nayo poliisi yayiriddwayo okulemesa Dr Kiiza Besigye okufuluma okuva mu makage.
Eno n’abamu ku bannamawulire bakwatiddwa okuli aba Daily Monitor Ronald Muhinda ne Stephen Kafeero wabula tukitegeddeko nti oluvanyuma bayimbuddwa.