Bya JESSICA SABANO.
Polisi amakya ga leero ekedde kukwata mubaka we Mukono Municipality Betty Nambooze nga ono bamulanga kubeera nakakwate kukutibwa kw’omubaka we Arua Municipality Ibrahim Abiriga.
Nambooze agiddwa mumakaage e Mukono, nga kino ekiwendo kikulembedwamu aduumira police ye Mukono Rogers Sseguya.
Ono asoose kukuumirwa wano ku polisi ya kampala road, kyoka oluvanyuma natwalibwa e Naggalaa
Police egamba nti nga Abiriga tanattibwa ku lwokutaano, Nambooze nabalala basatu baliko obubaka bwebaateka ku mikutu eggya social media nga bawagira okuttibw akwa Abiriga.
Abalala abayiggibwa ye Raymond Soulfa, amanyiddwa nga Peng Peng, Nasser Mugerwa ne Jane Kuli

