Poliisi e Soroti etandise okunonyereza ku musibe asangiddwa mu kadukuulu ng’afudde
Michael Egimu Sunday asangiddwa ng’alina olugoye mu bulago era nga kiteberezebwa nti yeetuze
Ssentebe w’ekitundu ky’obuvanjuba mu municipaali eno Paul Omer agambye nti bagaala kunonyereza kuzuula oba ddala omugenzi yesse oba waliwo abamutuze.
Wabula bbo ab’enganda z’omusajja ono bagamba nti baakomye okumulaba nga mulamu bulungi nga taliiko wamuluma yadde ebirowooza nga balumiriza nti omuntu waabwe basse mutte
Ayogerera poliisi mu kitundu kya Kyoga mu buvanjuba Juma Hassan Nyene bino byonna abiwakanyizza kyokka n’addamu okutegeeza nti bakunonyereza