Skip to content Skip to footer

Mivuyo mu Burundi,pulezidenti tamanyiddwaako mayitire,amaggye getemyeemu

Burundi violence

Abakulembeze b’amawanga ga East Africa basabye wabeewo okuyimiriza okulonda mu ggwanga lya Burundi

Abakulembeze bano abasisinkanye mu Tanzania bagamba nti embeera eri mu Burundi tesobozesa kulonda kyokka nga bagamba okwongezaayo tekulina kusukka gavumenti eriko w’ebadde erina kukoma

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa abakulembeze bano, mwebayise okuvumirira ebiri e Burundi nebasaba ekisoboka kikolebwe okuzza emirembe mu ggwanga lino

Bano era basabye abo bonna abali emabega w’emivuyo okweddako

bbo nno abajaasi mu ggwanga lya Burundi betemyeemu nga buli omu alwana kwezza kibuga ekikulu eky’eggwanga Bujumbura

Wabaluseewo okulwanagana okwamaanyi ku ku leediyo y’eggwanga obwedda evaako nga bw’eddako

Abawagira Nkurunziza bagamba nti bakyaali mu mitambo gy’ebifo ebikulu ng’ebisaawe kyokka nga n’abayekeera nabo bagamba beebali mu mitambo

Tekinnatagerekeka yye kazaalwa Nkurunziza ali ludda wa ng’abamu bagamba ali Tanzania ate abalala bagamba nti bamazeemu dda omusubi

Poliisi egamba nti efunye obujulizi obulaga nti abavuganya wano mu Uganda balina enteekateeka z’okukunga abantu beekalakaase nga bwe guli mu Burundi

Bannansi ba Burundi batandikawo okwekalakaasa nga bawakanya pulezidenti okufuna ekisanja ky’okusatu ekimenya ssemateeka w’eggwanag ayogera ku bisanja bibiri eri omukulembeze w’eggwanga

Yyo poliiisi wano mu Uganda , atwala poliisi mu kampala n’emiriraano Siraje Bakaleke agambye nti bafunye obubaka ku masimu nga bulaga abavuganya nga boogeraganya ku ky’okukunga abantu beekalakaase

Bakaleke agamba nti wabula balina obusobozi obukola ku mbeera yonna eyinza okukosa eby’okwerinda.

Yyo nno embeera mu Burundi ekyaali ya bunkenke  ng’amaggye kati getemyeemu

Embeera eno erese ebyentambula bikoseddwa nga kkampuni za baasi ezitwala abantu mu ggwanga lino liyimirizzaamu emirimu

Atwala kkampuni ya Gaaga Jephas Anguyo agamba nti batiisizza ba dereeva baabwe ne baasi zenyini kwekuyimirizaamu

Ono agamba nti abantu bangia batubidde nga bagaala kudda waka naye nga nabo tebalina kyakukola.

Ate ku paaka ya baasi eya Namirembe, aba Jaguar basazeewo okutambuza abantu okukoma e Rwanda olwo bbo nebeyongerayo mu Burundi

Bano bagamba nti era basobodde okutaasa abantu abawera ababadde batubidde nga kati basaba wakati w’emitwalo etaano kitundu n’omunaana eri abatambula.

Leave a comment

0.0/5