Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akatuze abantu 10 ku luguudo lwe Hoima Kasio- Tonya
Abagenzi kitegerekese nti batuuze okuva mu magombolola ge Kiziranfumbi,Kabwooya ne Buseruka nga byonna bisangibwa Hoima
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abagenzi babadde batambulira ku motoka ya Isuzu Canter nama UAM 396V neyefuula.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lydia Tumushabe agambye nti emotoka eno yefuulidde ku kyaalo Kyenjojo mu gombolola te Kabwooya
Abagenzi bategerekese nga Julius Asaba, Farida Kyosaba n’abalala.
Poliisi egamba nti abagenzi babadde bava mu katale ka mubuulo e Butimba nga bagenda ku mwaalo gwe Kaiso
Aduumira poliisi ye Hoima Steven Muhoozi akabenje kano akatadde ku kuvuga ndiima