Poliisi ye Kinoni mu disitulikiti ye Lwengo eriko omuvubuka wa mobile money ow’emyaka 22 gwekutte lwakusobya ku mwana ow’emyaka 14 nga asoma mu kibiina kya 6.
Kigambibwa nti Jawadu Ssebayinda y’asikambudde akawala kano nga kadda ewaka n’akaganzika mu kasiko n’akamalirako ekimiirimiiri.
Okusinziira ku maama w’omwana ono Rose Nayiga, tmuwalawe y’abadde agenze mu maka ga kojjawe amuyambe ku bibuuzo ebyamuweebwa okuva ku ssomero mu biseera by’oluwummula.
Agamba muwalawe y’akomyewo ewaka nga akaaba n’amutegeeza nga nga Ssebayinda bweyabadde amwefunidde n’addukira ku poliisi eyakutte ssebayinda ono.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza okukwatibwa kwa Ssebayinda n’ategeeza nga omuwala bw’agenda okutwalibwa mu ddwaliro balabe oba teyasiigiddwa siriimu.
