Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti abazadde bangi bayigiriza abaana baabwe okunywa omwenge
Abaana ebitundu 34 ku kikumi bagamba nti omwenge baaguyiga bali waka
Bbo abaana abaweza ebitundu 81 ku kikumi bagamba nti bagula omwenge nga bakozesa ensimbi zebajja mu mikwano gyaabwe ate abalala bagamba nti banywa lwa kiwubaalo
Okunonyereza okwazudde bino kwakoleddwa aba Straight talk foundation mu distulikiti nnya okuli Adjumani, Soroti, Nwoya ne Kitgum ng’abantu 628 okuli ne bannanyini mabaala n’abasomesa beebakwetabyeemu wansi w’enkola ya REdcard ng’eno ekigendererwa kyaayo kukendeeza baana bato abanywa omwenge
Omu ku baakoze okunonyereza kuno Martha Akello agamba nti abasomesa ate nabo abalina okuyamba abayizi obutanwa mwenge tebafaayo nga n’abamu ebibiina babiyingira batagala
Awadde eky’okulabirako ky’abavubuka mu Adjumani abakozesebwa abasajja abakadde abaggagga okufuna obuwala obuto nga babagulira omwenge
Omusawo omukugu mu ddwaliro ly’emitwe e Butabika James Nsereko agambye nti n’abaana abasinga beebabatwalira nga batabuse emitwe baba batandikira ku mwenge
Uganda lyerimu ku mawanga agalimu abantu bawoomerwa omubisi