Poliisi ya wano e Uganda ekwatagannye ne gavumenti ya Tanzania okukomyaawo omuduumizi w’abayeekera ba ADF eyakwatibwa mu ggwanga eryo.
Olunaku lwajjo gavumenti ya Tanzania yakakasizza nti omuntu gwebakwata ye Jamil Mukulu aludde ng’awenjebwa olw’ebikolwa by’obutujju
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bamaze okulagira Tanzania okutanidka ku mulimu gw’okuzza omukulu ono avunaanibwe
Enanga agambye nti ekibinja ekikulembeddwaamu omukulu Assan Kasinga kyatuuse dda mu Tanzania era nga kikola byonna ebyetaagisa kumaliriza ensonga