Namwandu wa Eria Ssebunya amanyiddwa nga Kasiiwukira yeganye ebyokutta bba nga amutebereza okubeeramu obulogo.
Sarah Nabikolo alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Masalu Musene mu kwewozaako ku musango gw’okutta bba Kasiwuukira ogumuvunanibwa.
Nabikolo ategezezza kkooti nti ye ne bba bbaali bakkiriza nyo nga era basabira mu kanisa ya St. Stephen’s e Kisugu kale nga tayinza kutirimbula kabiitewe gw’alinamu n’abaana 4 nti kubanga amutebereza okubeera omulogo.
Nabikolo nga ayambibwako munnamateekawe Mac dusman Kabega agezaako kwewozaako ku bigambibwa nti yekobaana ne mugandawe Sandra Nakungu n’omuserikale wa poliisi Jayden Ashiraf nebasasula abatta y Kasiwukira obukadde 20 nga abamu ku bajulizo bwebaagamba.
Kasiwukira yatomerwa mmotoka nga 17th/October 2014 bweyali akola duyiro kumpi n’amaka e Muyenga mu Diplomatic zone