Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mateeka n’emirimu gya palamenti kattukizza okunonyereza ku nsimbi z’abakozi abawummula nga zino ziwerera ddala obuwumbi 165 ezabulankanyizibwa.
Kino kiddiridde amawulire okulaga ng’ebitongole bya poliisi bwebitandise okulwanagana mu kubuuliriza ate nga waliwo n’abasirkale ba poliisi abagambibwa okulya okulya enguzi okutta omusango.
Akulira akakiiko kano Stephen Tashobya agambye nti bagaala bazuula abantu bonna abenyigira mu kulya ensimbi zino.
Tashobya era agambye nti weeki ejja, bakuyita abajulizi abalala okutuuka ku buzibu mu nsonga eno.