Bya Magembe Sabiiti
Omubaka we sazza lye Kasambya mu parliament Luwis Gaffa Mbwatekamwa asimatuse okufira mu kabenje ka motooka nabantu abalala 4.
Omubaka ono addusiddwa mu dwaliro ekkulu e Mubende nabanatu abalala bwebabadde mu kabenje nga bali mu mbeera mbi.
Kino kidiridde mmotooka kika kya Kosita namba UBA 185/V mwebabadde batambulira, kulemerera omugoba waayo nagikuba ekigwo olw’enguudo embi.
Omubaka Mbwatekamwa gwetusanze mu ddwaliro atubulidde ngakabenje kano bwebakafunidde mu district ye Ssembabule mu kiro ekikesezza olwaleero.
Agambye nti ababdde bava kuziika mu district ye Ibanda.