Bya Damalie Mukhaye
Alipoota Banka yensi yonna gyefulumizza eraze nti waliwo emiwaatwa mingi mu nsimbi ezitekebwa mu byenjigiriza wano mu gwanga, wabula ssi Uganda yokka nemu mawanga ga Africa amalala mangi.
Bwabadde atongoza alipoota eno akulira ebyenjigiriza mu World Bank Sojitha Bashir agambye nti Uganda esasanya 95% ku mbalirira yaayo ku basomesa ate 5% byebidda eri ebisigadde.
Alaze okutya nti okuteeka ssente ezisinga mu misaala ensonga endala nezitakolwako kyabulabe.
Awabaudde nti 80% wakiri zitekebwe mu misaala gyabasomesa ate 20% zigule ebintu ngebitabo nebeytaago ebiralala.