Skip to content Skip to footer

Poliisi erabudde abazadde ku kusoma kwabaana

Bya Ndaye Moses, Ivan Ssenabulya ne Abubaker Kirunda

Ng’olusoma olusooka mu mwaka lutandise olwaleero, poliisi erabudde erabudde abazadde ku kumala gatwala abaana abato ku masomero,[IS1]  wansi wemyaka 10 nga tebabawerekeddeko.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agamba nti abantu abkyamu bayinza okukozesa obunafu obwo, nebawamba abaana, nebatandika okusaba ssente ng’omusingo okubabadiza.

Alabudde nti kya bulabe kalenga abazadde balina okufaayo ennyo, ku baana mungeri eyenjwulo

mungeri etali ya buvunanyizibwa.

Okusaba kuno kukoleddwa ssentebbe waba dereva, mu kibiina kya Uganda Transport Development Agency Mustapha Mayamba.

Bino webijidde ngenduudo ezenjawulo zikedde kukwatirira ngembeera bweyabadde nolunnaku lwe ggulo olwabaddayo ku masomero.

Bbo abayizi benyini balabuddwa babeere begendereza nnyo, ku bafere abayinza okubajjako, ebyabwe ne ssente zebisale.

Omwogezi wa poliisi mu Kiira Dianh Nandaula yalabudde nti emisango, gyobufere gitera okweyongera mu biseera bino, ebybaana okudda ku masomero.

Kati balabuddwa bewale bonna abayinza okujja nga befuudde ababayamba, kuba abasinga babbi.


 [IS1]

Leave a comment

0.0/5