Skip to content Skip to footer

Mbabazi yeyanjudde eri akakiiko ka COSASE

Bya Kyeyune Moses

Abaali banananyini, National Bank of Commerce banokoddeyo obunanfuusi, ne kobaane mu banka enkulu, ngebimu ku byavirako okuggala banka yaabwe.

Bwebabadde balabiseeko mu kakiiko ka COSASE, Mathew Rukikaire eyali ssentebbe wa banka eno, agambye nti byonna byebasalawo okubaggala, byakolebwa mu bunanfuusi.

Ono ategezeza nga webabagalira, bwebalina 97% ku ssnte ezetagibwa, nga capital okukola eirimu.

Balumirizza Justine Bagyenda, eyali akulira okulondoola banka ezebyobusubuzi ne Ben Sekabira, ngabaali emabega wa vvulugu ono.

Bano bebakosebwa mu kuggala banka ezebyobusubuzi 7, okugambibwa nti tekwagoberera mateeka, okusinziira ku alipoota za ssbabalirizi webitabo bya gavumenti.

Ate eyali omuloamuzi wa kooti ensukulumu, George Wilson Kanyeihamba asabye akakiiko nti kyagala banka ye eya Kigezi Bank of Commerce ekomezebwewo.

Ono agambye nti Kigezi Bank of Commerce okuggalwa, nebajiguza National Bank of Commerce kyali kikyamu.

Wabula ssentebbe wakakiiko asabye, Kanyeihamba, okusigala ku nsonga zebaliko, kubanga, ebya Kigezi Bank tebabibawa kubonoyerezaako.

Leave a comment

0.0/5