Eyali Katikkiro wa Buganda Daniel Muliika asabye abantu okwettanira eby’obulimu mu kifo ky’okusabirizanga gavumenti .
Owek. Muliika agamba nti bannayuganda basobola okwegobako obwaavu ssinga gavumenti ekendeeza ku nsimbi z’essa mu ttiyagaasi n’emmundu n’ezissa mu bulimi naddala obw’amatooke n’emmwanyi
Ono era alabudde abantu okwewala eby’obufuzi ebyawula mu mawanga wamu n’amadiini kubanga bizza eggwanga emabega.
Muliika okwongera bino abadde mu disitulikiti ye Mpigi mu musomo gw’okwekulakulanya ogutegekeddwa ku buwama community centre
Ye ategese omusomo guno munna DP Evelyn Nakirya Kigongo asabye gavumenti okuzzaawo ebibiina by’obweggasi, olwo abantu basobole okwekulakulanya nga begasse awamu.