Bya Opio Caleb
Entiisa ebutikidde abatuuze b’eKiwolera Nabwigulu mu district ye Kamuli oluvanyuma lw’omulenzi okugwa mu kidiba naafa bwabadde agezako okuvuba eby’ennyanja
Omwogezi wa police mu bitundu bye Busoga Michael Kasadha agambye nti omulenzi ye Ian Muwanika 13 nga abadde muyizi mu ky’okusatu
Kasadha agamba nti olw’enkuba ebadde efudemba ebidiba byajula ate biserera nyo kyokka abaana bo babiyingira buyingizi n’alabula abazadde okufaayo okukuuma abaana baabwe.
//////////////