Bya Prossy Kisakye
Poliisi e Mubende eriko omwana ow’emyaka 5 gwenunudde okuva mu kinnya kye kiswa ekibadde mu kibira kya payini ku kyalo Butayunja mu gombolola ye Kitenga e Mubende.
Anunnuddwa abadde yawambibwa enaku ssatu eziyise okuva maka ga jjajjaawe Abudul-Kalimu Kayira agasangibwa ku kyalo Kyenda mu gombolola ye Kitenga.
Omwana ono Jamadah Ssengooba yawambibwa ku lunaku olw’okusatu era abamuwamba bakubira abenganda ne babategeeza nga Jamadah emotoka bwe mutomedde wabula nga tebogera ddwaliro gyatwaliddwa oluvanyuma bakuba ne bategeeza nga omwana bwe yawambidwa era bagala obukadde 3 okumufuna
Maama w’omwana ono Alima Nanyanzi atubulidde nga poliisi bweyasobodde okununula omwanawe nga ali mu mbeera mbi naddusibwa mu ddwaliro lya Mubende Regenal Refferal Hospital gye yafunidde obujanjabi
Ssentebe we gombolola ye Kitenga Ggamba Edward avumiridde ekikolwa kino nategeeza nga omwana ono bwabadde yasibibwa mu kutiya n’oluvanyuma
natekebwa mu kiswa era nga singa poliisi teyamununudde olunaku lwe ggulo yabadde wakufa n’asaba abazadde okufayo ennyo eri abaana .
//////////////////////////////