Skip to content Skip to footer

Lukwago-IPOD Tekyalina makulu

Bya Prossy Kisakye

Okusinzira ku bigenda mu maaso mu by’obufuzi bya Uganda loodi meeya wa kampala Elias Lukwago awadde amagezi ab’oludda oluvuganya baabulire omukago gwa interparty party organization for dialogue gw’agamba nti gw’ava dda ku mulamwa.

Nga ayogera ne ddembe fm Lukwago ategezeza nga omukago gwa IPOD bwe gwatondebwawo okutabaganya ebibiina by’obufuzi n’okugonjoola enjawukana eziba zizeewo wabula bino byonna tegutukirizako n’ekimu.

Loodimeeya ayongedeko nti gavumenti okutulugunya  abagivuganya kabonero nti omukago gwa IPOD tegusobola kutabaganya ba bibiina ebingi bwatyo n’asaba ebibiina by’obufuzi ebiri ku ludda oluvuganya okugwamuka.

Leave a comment

0.0/5