Bya Mbogo Sadat
Wabaddewo akasattiro ku police e Kifampa mu ggombolola y’e Kabulasoke mu district ey’e Gomba omusibe bw’afiiridde mu kaduukulu nga yaakatuusibwayo.
Afudde ategeerekese nga Robert Magembe, owemyaka 27 nga asoose kukubibwa batuuze oluvanyuma lw’okumukwata n’embuzi enzibe okuva ku kyalo.
Donozio Ssekiwunga ssentebe w’ekyalo Kifampa agambye nti ng’akakiiko, bagezezzaako okutaasa omubbi ono obutakubwa naye abatuuze ne babasinga amaanyi.
Okusinziira ku muduumizi wa police e Gomba Alfonse Musoni, omulambo gw’ono gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe mu district ey’e Butambala okw’ekebejja nga okunonyereza bwe kugenda mu maaso.