KKooti enkulu etuula e Mukono ng’ekubirizibwa omulamuzi Paticia Basaza Wasswa etandise okuwulira omusango gw’omusajja avunaanibwa okwokyera mutabani we mu nyumba.
David Kabogoza omutuuze we Nabuta e Seeta, kigambibwa nti yakkakkana ku mutabani we yekka gweyalina Marvin Kivumbi ow’emyaka 7 n’amusibira mu nyumba n’agitekera omuliro n’asiriaka.
Bino byaliwo mu mwaka gwa 2011 mu budde bw’ekiro oluvanyuma ye taata n’adduka.
Abajulizi babiri okuli abasirikale ba poliisi okuli Ronald Myaya ne Prujence Byamugisha abanonyereza ku musango guno beebasoose mu kkooti.
Wabula mu lutuula luno omuvunaanwa Kaboggoza abadde aleekanira waggulu nti bamuwaayiriza omwana we gyali mulamu era asoma.
Abajulizi bategeezezza nti mu kusooka nga yakakwatibwa yakkiriza nti yali ayokyezza omwana we olw’ebizibu byeyalina, abaana be abalala okufa n’omukazi okumunobako, era n’omuliro yagukuma waliwo emizimu egumwetimbyeko.
Omusango gwongezeddwayo okutuuka nga ssatu ogw’omunaana n’omulamuzi ayisizza ekiragiro Kaboggoza atwalibwe baddemu bamwekebejje obwongo okukakasa oba bukola bulungi.