Skip to content Skip to footer

Poliisi eremedde ewa Besigye

File Photo: Besigye nga polisi emukutte
File Photo: Besigye nga polisi emukutte

Poliisi n’okutuusa kati ekyagumbye mu maka ga munna FDC Dr Kiiza Besigye nga bano babaddeyo okuva nga 15 February.

 

Okusinziira ku ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura, kino kigendereddwamu kulondoola ntambula za Besigye obutaleeta kavuyo .

 

Wabula abantu abenjawulo okuli ne bannadiini baagala Besigye aweebwe eddembe lye elyokwetaaya nga munnayuganda omulala.

 

Omusasi waffe Moses Kyeyune y’akyaliddeko Besigye mu maka ge e Kasangati namunyonyola kyazzaako oluvanyuma lwokuwangulwa mu kalulu k’obwapulezidenti.

Leave a comment

0.0/5