Bya Juliet Nalwoga
Akulira ekitongole kya, Uganda Women’s Network Rita Aciro, okweyongera kwebikolwa, ebyokuekjjla abawala mu mbugo, akitadde ku bunafu bwokutekesa amateeka agaliwo mu nkola.
Amaulire agalaze, nti ebikolwa bino, byeyongedde nnyo, ngabawala 100 bebakekejjulwa mu district ye Kween, mu December ku nkomerero yomwaka oguwedde.
Ono agamba nti, waliwo nobunafu kuba, poliisi tebangulwanga, kungeri yokukwasisaamu amateeka, mu kulwanyisa omuze guno.
Kino kimenya amateeka mu Uganda, nga kityoboola eddembe lyobuntu, ate nokuteeka abulamu bwabawala mu kabi.