Bya Ivan Ssenabulya
Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga agguddewo Sabtiiti ya Bulungi Bwansi eyomwaka guno mu Ssaza lya Ssabasajja erye Kyaggwe.
Owembuga alangiridde olunnaku Lowmukaaga, olunnaku olujja okukolebwangako Bulungibwansi ku magombolola gonna mu Bwkabaka bwa Buganda.
Katikkiro abadde ku kanisa ya Mt. Labanoni ku kyalo Kikooza e Mukono, ngeno agambye nti okuva ku ssaawa 1 eyokumakya okutuuka 2 ez’okumakya, buli Muntu atekeddwa okukola.
Katikkiro agambye nti okukola Bulungibwansi yoomu ku kaweefube wa Ssabasajja, abantu be okwegobako ebirwadde.
Omukolo gwetabiddwako minister wa Kabaka owa Bulungi bwansi, abakyala, n’entambula ze Owek. Mariam Mayanja, ssentebbe wakabondo kababaka ba Buganda Johnson Muyanja Ssenyonga, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo nabakulembeze abalala mu kitundu.