Bya Abubaker Kirunda
Waliwo omusawo wekinnansi atemuddwa abatamanya ngamba mu district ye Kaliro.
Yakub Balikowa abadde mutuuze ku kyalo Nabulungu mu gombolola ye Namwiwa nga kigambibwa nti baamutidde mu kkubo ngaddayo ewuwe, bwabadde ava okusawula.
Eyali ssentebbe wa district ye Kaliro Elijah Kagoda Dhikusooka atubuliidde nti omulambo gwono gusangiddwa mu kasiko ku mabbali ge kkubo.
Yyo poliisi ejjeewo omulambonegutwalibwa mu gwanika okwongera okwekebejjebwa.