Bya Malikh Fahad
Abantu 2 bafiridde mu kabenje akagudde mu district ye Sembabule mmotoka ebadde etwala amata bwetomedde, pikipiki.
Abagenzi kuliko Abdullah Waswa owemyaka 28 nemuwala owe owemyaka 4 Fahimah Babirye omutuuze we Katuso mu gombolola ye Lwebitakuli.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Nankondo mu district ye Sembabule, nga mmotoka yamata namba UAK 852/F ebadde eva e Kyemamba okudda e Lyantonde etomedde pikipi namba UAC 200/F ebaddeko omusajja ne mukala we nomwana.
Aberabiddeko bagamba nti akabenje kano kaavudde ku mugoba we mmotoka abadde afumuuka, ngakaweewo motoka kwemulemerera.
Omuddumizi wa poliisi mu kitundu Latif Zaake, akaksizza akabenje kano, nga nomugoba we mmotoka yamata bamukutte bwabadde agezaako okudduka.