Bya Abubaker Kirunda
Abatuuze ku kyalo Namakoko mu district ye Namutumba, basabye ssentebbe waabwe owe kyalo Jafali Kazungu akomye okweyambiranga mu kabuyonjo ye ssomero erimuli okumpi, asime eyiye oba ssi ekyo, baakumukubako aklulu akamujjamu obwesige.
Abatuuze bagamba nti ono akulembedde ekyalo okumala emyaka 16 wabula ngakozesa kabuyonjo ya Namakoko P/S.
Kati bazikubyemu makiikakiika okwaka, nti tebajja kumukiriza kujjuza kabuyonjo ya ssomero, eyazimbibwa ku nsimbi eyomuwi womusolo.
Wabula ssentebbe Kazungu mu kwewozaako agambye nti byebamowgerako, obutaba na kabuyonjoa birimu entalo zebyobufuzi.
Yye agamba nti alina kabuyonjo era takozesa ya ssomero.