Bya Sam Ssebuliba
Poliisi eye Katwe eriko omukuumi mukitongole kyobwananyini gwekutte oluvanyuma lwokuva mu mbeera nakuba munne amasasai, namulumya wali mu Ndeeba.
Bosco Eyoko owemyaka 25 ngabadde mukuumi mu KPI Security Services Limited yakubye mukuumi munne Judith Ayugi abadde akuuma ku Baki Auto Dealers.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Luke Owoyesigyire bino bualiwo nga 10th October ngokuva olwo Eyoko abaddenga aliira ku nsiko.
Agamba nti bakukoze okunonyererza nebazuula waali era nebamukwata, nga kati wakkugulwako misango gyakugezaako kutemula.