Skip to content Skip to footer

Aba DP basabye gavt etangaze kunzirunkanya yéttaka mu bibuga

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kisabye gavumenti okulowooza kukyokukola ennongosereza mu amateeka agakwata ku byettaka mu bibuga.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa DP, Okoler Opio, agambye nti mutteeka lye ttaka elyomwaka 1998, aba town council abalina obuyinza okulambika puloti mu bibuga bagibwako obuyinza ne budda mu bukiiko bwe ttaka obwa disitulikiti.

Wabula gavt bwegenze etondawo ebibuga ebigya, ebintu bigenze bikyuka nga kati aba tawuni kanso bagenda mu maaso nokugaba puloti ze bibuga ekikontana ne teeka lya 1998

Opio anyonyodde nti aba tawuni kanso balina buyinza butekerateekera bibuga sosi kugaba ttaka.

Leave a comment

0.0/5