Bya Kato Joseph
Abazigu abatanaba kutegerekeka, bayingiridde amaka e Najjera, mu munispaali ye Kira mu district ye Wakiso, nebafumita nnyimu ebiso ebimusse.
Omwogezi wekitongole kyabambega Vincent Ssekate, akaksizza ettemu lino.
Bino bibadde mu maka ga Archi Lwego nga baamufumise emirundi 10, wakati mu kulwana okungi okugezaako okwetaasa.
Ssekate gagambye nti abatemu baalumbye mu kiro nga baayise mu luggi lwe mmanju, enkuba bwebadde ettonnya nebatuuma nemu kisenge.
Mukyala womugenzi Dorah Asio, ategezezza poliisi nti abtemu babadde 3, nga baabadde bebagalidde emyambe emyoji, nobutayimbwa.
Kati omusajja ono afudde bwabadde addusibwa mu ddwaliro e Najjera amakya ga leero.