Skip to content Skip to footer

Aba FDC bayimirizza okulonda e Nakawa

FDC

Nga bannakibiina kya FDC betegekera okulonda abakulembeze babwe abokuntikko, nate okusika omuguwo kubaluseewo nadala mu kulonda abakulembeze ku mitendera egyewansi.

Wano mu kampala  waliwo abakulembeze okuli n’omubaka omukyala akikirira district eno mu parliament, Nabiilah Nagayi Ssempala, bagamba nti okulonda kuno nadala mu division ye Nakawa kwetobeseeemu okubiira obululu.

Ye akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino Dan Mugarura agambye nti basazeewo okuyimiriza okulonda e Nakawa okutuuka olunaku lw’enkya, oluvanyuma lw’okukizuula nti waliwo bakanyama ababadde batandise okukuba abantu, kyoka nga sib a member b’ekibiina.

Wabula Mugarura agambye nti buli kyetagiisa kyakukolebwa okulaba ng’okulonda abakulembeze ab’okuntikko kutambula bulungi.

Mungeri yemu ekibiina kirangiridde nga bwekijje Ttabamiruka mu Kisaawe e Namboole nebamuzza e Logogo mu UMA exhibition hall.

Leave a comment

0.0/5