Skip to content Skip to footer

Abakozi tebannasasulwa misaala

Musisi

Abakozi ba gavumenti abasoba mu 3000 tebanafuna musaala gyabwe ogw’omwezi oguwedde ate abo abakuzibwe tebanaba kuweebwa nsako yabwe.

Kino kibikuddwa akulira aby’abakozi mu kibiina kya Uganda National Teachers Union Filbert Baguma.

Baguma agambye nti waliwo abasomesa 2,000 abakola ne KCCA abatanasasulwa musaala, ate ng’abakozi 1000 tebanasasulwa okuva mu disitulikiti ye Nakasongola.

Baguma era anokoddeyo n’ebitundu ebirala omuli Hoima, Maracha ne Masindi,nga nayo abakozi tebanasasulwa.

Wabula ye omwegezi wa ministule y’ebyensimbi Jim Mugunga agambye nti ensimbi zino zasindikibwa dda, kale nga nabo tebamanyi lwaki abakozi tebanazifuna.

Kyokka Ye omwogezi wa KCCA  Peter Kauju agambye nti kino kivudde ku nsimbi entono zebalina, wabula nagana okuwa ebisingawo.

Leave a comment

0.0/5