Omubaka Betty Nambooze asumattuse akabenje enkya ya leero bw’abadde ava okutwala abaana be ku ssomero
Ono atwaliddwa ku ddwaliro lye Mukono abasawo gyebamwekebejjeredde n’oluvanyuma n’adda ewaka
Omuyambi we Robert Namugera atugambye nti ono tafunye biwundu bya maanyi kyokka ng’alumizibwa mu kifuba
Ono emotoka ye y’eremereddwa okusiba n’ayingira mu lusuku
