Eby’okwerinda binywezeddwa ku kkooti ng’okuwozesa abagambibwa okutega bbomu ezatta bannayuganda abasoba mu nsanvu kugenda mu maaso.
Asoose mu kaguli ye Mahmood Mugisha eyakkiriza nti mu butuufu yayambanga aba Alshabaab okusendasenda abavubuka okubegattako era nga ne bbomu zenyini yazimanyaako nti zakutegebwa
Omusango guno gwaali gayimiriramu oluvanyuma lw’okuttibwa kw’amyuka ssabawaabi wa gavumeti Joan Kagezi.
Mu kulaga obumu , ssabawaabi yenyini Mike Chibita ali mu kkooti ng’omusango gugenda mu maaso
Okuwulira omusango kuwummuddemu okutuuka ku ssaawa munaana.
Bakudda mu kkooti ku lw’okusatu ng’omujulizi omuggya lw’analeetebwa
