Bya Ivan Ssenabulya.
Sipiika wa palamenti ya uganda omukyala Rebecca kadaaga asoomozezza minisitule ekola ku by’amawulire okukwatagana ne banamawulire benyini balowooze ku kyokukola enongosereza mu mateeka agambibwa okuba nga gazibuwaza emirimo gy’abanamawulire.
Sipiika okwogera bino abaddde wano ku kibangrizi kya Railway grounds nga yegasse kubanamawulire okukuza olunaku lwabwe olwaleero.
Speaker agambye nti banamawulire bankizo nyo mukulwanirira edembe ly’abantu abatalina doboozi,kale nga amateeka agabasiba amagulu n’emikono geetaga kukyusa.
Ono wayogeredde bino nga amateeka nga ely’enkozesa ya computer- computer misuse act kko n’elyobutujju googerwako nga agasinze okuzibuwaza omulimo gwabanamawulire.