Bya Juliet Nalwoga, Omuwendo gw’abantu abakafiira mu bulumbaganyi obwakoleddwa kudduuka eritunda ebikozesebwa mu kuzimba erya Cheap Generla Hard Ware e Nasana mu district eye Wakiso gulinye okutuuka ku bantu 3.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano Patrick Onyango awezeza omuwendo ogwokusatu ye Amin Bugembe ng’ono afiiridde mulago gyeyabadde addusidwa okutaasa obulamu.
Obulumbuganyi buno bwabaddewo ku ssaawa munaana ez’emisana olunaku lwajjo abazigu ababadde bambalidde obukookolo ssaako n’emmundu bwe basumuludde amasasi agasse Jimmy Atukuru, ne Frank Aliho era nga bano bafiiriddewo.