Bya Shamim Nateebwa
Empologoma ya bUganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 asiimye okulabikako eri obuganda mu kuggalawo empaka zamasaza ku Lwomukaaga luno.
Mu kwogerako eri bannamawuliire minister webyemizannyo Owek. Hnery Ssekabembe ayanjulidde obuganda ekikopo ky’amasaza ekigenda okuwakanirwa Buddu ne Ssingo ku lw’omukaaga luno e Namboole.
Owek. Ssekabembe atongozza nokugula ticket mu butongole era nalangirira ebifo ebitongole abantu webanazisanga, okuli
Total petrol stations, neku maduuka ga Airtel agetoolodde Kampala.
Mungeri yeemu Minisita Ssekabembe agabidde bannamawulire ticket ku bwerere ngakabonero okulaga nti ticket zituuse ku katale.