Skip to content Skip to footer

Yusufu Kawooya ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi

Bya Ritah Kemigisa

Yusuf Kawooya omusajja eyalabikira mu katambi ngakwatibwa nobukambwe abagmbibwa okubeera abakuuma ddembe, wakati mu kibuga ku Colville Street ayimbuddwa.

Ayimbuddwa ku kakalu ka poliisi, ngayamiddwako omubaka we Nakawa Michael Kabaziguruka.

Omubaka Kabaziguruka agambye nti tewali musango gwonna gumuguddwako, wabula alagiddwa okweyanjula ku SIU nga 31st October.

Kawooya yakwatibwa oluvanyuma lwokumukuba ebigala bye mmundu, bamutwalira mu taxi egambibwa okubaako namba plate enjingirire.

Abenganda bamaze ebbanga nga bamunoonya, oluvanyuma poliisi nekakasa nti akumibwa ku SIU e Kireka.

Leave a comment

0.0/5