Skip to content Skip to footer

Ababaka baagala amyuka gavana wa banka alekulire.

Bya Moses Kyeyune.

Waliwo ababaka ba palamenti abatabukidde omumyuka w’akulira banka ya Uganda enkulu Dr. Louis Kasekende kko n’abakozi abalala okugira nga badako e bali kisobozese kalisoliiso wa gavumenti okubanonyerezaako, naddala ku by’obugaga byabwe byebalina.

Waliwo ebyazuuka nga biraga nga abakungu bano balina eby’obugaga ebitagambikka wano mu Kampala, Wakiso n’emu bitundu ebirala wabulanga biriko akabuuza

Bwabadde ayogera ne banamawulire omubaka we Nwoya, Simon Oyet n’owe Ngora David Abala bagambye nti abakulu abanonyerezebwako abasaana bade ku bbali okuyuusa nga ensonga zino ziwedde.

Wabula kigambibwa nti okusinziira ku alipoota za kalisoliiso wa government , omukulu Louis Kasekende yategeeza nti ensibuko yebyobuagga bwe kekasiimo akamuweebwa okuva mu Bank enkulu, African Development Bank ne World Bank gyakola.

Leave a comment

0.0/5