Skip to content Skip to footer

Ba landiloodi abaseera amasanyalaze baakukwatibwa.

Bya Samuel Ssebuliba.

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ategeezeza nga bwayinza okulagira okukwatibwa kwaba  landiloodi  abasoloza ensimbi z’amasanyalaze enyingi okuva ku bapangisa kyagamba nti kimenya mateeka.

Ono okwogera bino abadde wano ku qualicel bus terminal, abasubuzi nebamukaabira nti banyini bizimbe babakana ensimbi z’amasanyalaze enyingi, kyoka nga bakozesa matono.

Kati mukwanukula president agambye nti bano kyebakola kyenkana n’obunyazi, era nga ayinza n’okulagira bakwatibwe.

Wabula President bano abagambye nti ekibakaabya butamanya, kko n’obutayiga bwabwe, kubanga baalemwa okulonda abakulembeza baagamba nti bebategeera nebadda mukulonda abavuganya government.

Leave a comment

0.0/5