Bya Benjamin Jumbe
Eyali Ssabaworeza wa gavumenti Peter Nyombi wakuzikibwa ku Lowkusattu mu nyumba ye eyoluberera mu district ye Nakasongola.
Owekitiibwa Nyombi yafiridde ku SAS clinic ku bombo road wano mu Kampala gyebadde addusiddwa, oluvanyuma lwokugwirwa ekimebe kyamangu.
Okusinziira ku muganda womugenzi Henry Mayega okuziika kwakubawo ku Lwokusattu.
Mu kusooka wagenda kubawo okusabira omwogyo gwomugenzi olunnaku lwenkya ku lutikko e Namirembe.
Ate olumbe lwo lugendakukumibwa mu maka ge e Buziga ku ssaawa 11 ezolwe ggulo.
Nyombi yafiridde ku myaka 64, nga yeyaddira Prof. Kiddu Makubuya, okuva mu May 2011 okutukira ddala mu March 2015.