Bya Samuel Ssebuliba
Abakulu mu kibiina kya NRM batutegeezeza nga bwebamaze okufuna ensimbi obukadde 900 nga zino zezaali zibalemesezza okutekateeka okulonda okw’akamyufu mu district 6 empya nga kuno kwogasse neya Hoima.
Gyebuvudeko NRM yali yayimiriza okulonda okw’akamayufu mu district okuli Nabelatuk, Kapelebyong,Kassanda, Bugweri ,Kwania kikuube ne Hoima nga ensonga ya nsimbi.
Kati bwabadde ayogerako ne banamawulirre, omumyuka w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda John Kijaji agambye nti ensimbi zino zimaze okubatuukao , era nga kati obutasukka lwa kutaano sabiiti eno baakufulumya entekateeka namutayika