Skip to content Skip to footer

Enjuki zisse omwana

Bya Yahud Kitunzi

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Silika mu disitulikiti ye Busia enjuzi bwezilumye omwana ow’emyaka 4 n’afiirawo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi  Sowali Kamulya akakasizza kino omugenzi n’amumenya nga Hatiti Deludani nga era enjuki za  Micheal Sanya muliraanwa.

Kamulya agamba omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye Busia okwongera okwekebejebwa.

Taata w’omugenzi Geoffrey Hatiti asabye poliisi eyongera okunonyereza ku nfa yamutabaniwe era nanyini njuki zino avunanibwe.

Tekinategerekeka oba nanyini njuki anagulwako omusango gwonna.

 

Leave a comment

0.0/5