Bya Malik Fahad
Omubaka wa pulezidenti e Lwengo ayingidde mu by’omusawo w’eddwaliro lye Lwengo agambibwa okulagajjalira omulwadde n’afa.
Omubaka Mariam Nalubega Sseguya okubiyingiramu kiddiridde Emma Katongole okufiira mu ddwaliro lino nga era baakitadde ku bulagajavvu.
Omu ku b’oluganda b’omugenzi John Kaweesi ateegezezza nga bwebatwala omugenzi mu ddwaliro ekiro nebasangawo omusawo omu yekka wabula naye n’abulawo omuntu waabwe n’ataawa kutuusa kufa nga tewali amukozeeko.
Kati RDC Nalubega agamba azze afuna okwemulugunya ku basawo mu ddwaliro lino nga kati ayagala poliisi enonyereze mangu ku mbeera eno.
Abasawo okulagajjalira abalwadde mu kitundu kino ssikipya nga n’be Lyantonde bakola bwebatyo.
Gyebuvuddeko waliwo assoma obusawo eyakwatibwa lwakulagajjalira mwana n’afa.