Bya Malikh Fahad
Abantu 2 bafiriddewo mbulaga nabalala 3 nebalumizibwa oluvanyuma lwakabenje akagudde e Bukomansimbi aketabiddwamu mmotoka 2 ne pikipiki.
Abagenzi kuliko Kato Mukasa omugoba wa pikipiki e Bukomansimbi nomugoba we mmotoka Paul Tamale.
Akabenje kano kagudde mu lusaalu lwe Namajuzi mu gombolola ye Butenga ku luduudo oluva e Kalungu okudda e Bukomansimbi mmotoka kika kya kabangali namba UAU 349/K ebadde edda e Bukomansimbi bweyambalidde kikabangali ekiralala ekibadde kidda e Kalungu.
Mmtoka zombie za kampuni yaba-China ekola oluguudo oludda e Kanoni-Sembabule-Villa Maria.
Mu kabenje kano mwemugendedde nowa pikipiki abadde ku namba UEQ 249/V abadde okumpi.
Omubaka wa gavumenti e Mukasa Kityo Bukomansimbi akakasizza akabenje kano, nakateeka kukuvugisa ekimama.
Bino webijidde ngabantu 3 bebafiridde mu kabenje akagudde e Masaka olunnaku lwe ggulo.