Entiisa ebuutikidde abatuuze be Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omusajja atanategerekeka.
Kasimu Jjunju y’agudde ku mulambo guno nga abadde alunda nte ye mu kibira.
Jjunju agamba awulidde ekivundu ekyamanyi okugenda okwekeneneya amaaso agakubye ku mulambo oguvunze.
Okusinziira ku Deo Mutate ,nga ono ye ssentebe w’ekyalo Kabigi,omulambo guno gubadde gumaze mu nsiko kumpi wiiki namba.
Agamba omusajja ono yandiba nga y’atiddwa okuva mu kifo ekirala omulambo gwe negusuulibwa mu kitundu kyabwe.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza kino n’ategeeza nga bwebakyafuba okumanya ebikwata ku mugenzi.