Ekibiina ky’abavubuka ba NRM mu bitundu bye Rwenzori kigobye abakulembeze baakyo 3 lwabigambibwa nti bekwenyakwenya n’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi.
Okusinziira ku bbaluwa eyabagobye eyawandiikibwa nga 29 April 2015, abasatu bano babadde balya mu lurime ne luzise.
Abagobeddwa kuliko Hidden Basiima nga ye ssentebe w’akakiiko akatwala abavubuka mu kitundu kino, Stella Kemigabo nga ono kansala w’abakyala ssaako ne Olivia Mutamba .
Ssentebe w’ekibiina kino Patrick Kamulindwa agamba bano bazze balabulwa ku neyisa yaabwe naye nga tebawulira.
Bano bebamu ku kibinja ekyakyalira Mbabazi mu makage nebamukwanga satifikeeti y’okwesimbawo ku bwa pulezidenti mu 2016.