Abakulembeze b’oludda oluvuganya gavuenti wansi w’omukago gwabwe gwabwe ogubagatta ogwa Interparty Cooperation batongozza kawefube w’okukunga bannayuganda okusimbira ekkuuli enongosereza mu ssemateeka ezafulumiziddwa gavumenti.
Nga bakulembeddwamu loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye, bagamba nti gavumenti eriko kati tekiikirira kwagala kwabannayuganda kale nga tesobola kutegeka kulonda kwamazima.
Bano baweze nga bwebagenda okukola ekisoboka mu ngeri yonna okuteeka akazito ku palamenti n’ababaka nga bassekinoomu obutayisa nongosereza zino ezitaliimu ddoboozi lyabannayuganda.
Okuwera kuno bakukoledde wali ku kitebe kyabwe ku luguudo Katonga.