Bya Damali Mukhaye.
Ekibiina kya FDC kisabye abo bonna abaagala okunyuka ekibiina mu mirembe bakikole magu,bwebaba baagala bagende beegatte ku Gen Mugish Muntu.
Kino kidiridde Gen Muntu okutegeeza nga bwavudde mu kibiina , era nga agenda kulangirira ekikye mu bwanu dala.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano e Najjanakumbi, ayogerera ekibiina kino Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti abo bonna abaagala okugenda naye nga balina ebifo mu kibiina bategeeze abakulu mu bwangu bafune abaanaabaddira mu bigere.